Content-Length: 79485 | pFad | https://lg.wikipedia.org/wiki/Ow%27ekitiibwa_Edward_Kiwanuka_Ssekandi

Ow'ekitiibwa Edward Kiwanuka Ssekandi - Wikipedia Jump to content

Ow'ekitiibwa Edward Kiwanuka Ssekandi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Eyaliko Omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Uganda, Omwaami. Edward Kiwanuka Ssekandi ng'abuuzaako ku mumyuka w'omukulembeze wa India, Shri M. Venkaiah Naidu, mu kibuga New Delhi mu mwezi gwa Mugula Nsigo, 24, 2018

Edward Kiwanuka Ssekandi yazaalibwa nga 19/Gatonnya[1]/1943. Munnayuganda, munnabyabufuzi era munnamateeka. Ono yamyuka omukulembeze wa Uganda okuva nga 24/Ogwokutaano 2011 okutuuka nga 21/Muzigo[2]/2021.[3] Nga tannatuuka kw'ekyo, yaweerezaako ng'omukubiriza wa Paalamenti okuva mu 2001 okutuuka mu 2011 era nga yaliko omumyuka w'omukubiriza wa sseteseerezo y'omu oyo era nga mu kiseera kyekimu ye yali omukiise wabantu be Bukoto ey'a Masekkati mu ssetteesezo wa Uganda okuva mu 1996 okutuuka mu 2021.[4]

Edward Kiwanuka Ssekandi, eyaliko omukubiriza wa paalamenti ya Uganda ate era yamyukako ko omukulembeze wegwanga

Obuzaale bwe.

[kyusa | kolera mu edit source]
Mmaapu ya Uganda nga erimu ne bendera y'eggwanga
Rebecca Alitwala Kadaga eyasikira Mr Edward Kiwanuka Ssekandi ku bukubiriza wa paalamenti ya Uganda.

Ssekandi yazaalibwa mu disitulikiti y'e Masaka nga 19/ Gatonnya/1943, era nga azaalibwa omwaami Alex Kiwanuka n'omukyala Virgo Kiwanuka[5] ku kyalo kya Bulegeya , mu ggombolola y'eKyanamukaaka, mu disitulikiti ya Masaka, mu gwanga Uganda.

Obuyigirize bwe.

[kyusa | kolera mu edit source]

Yasomera mu Lubiri Secondary School ku mutendera ogwa 'O' level era neyeeyongerayo ku mutendera ogwa 'A' level ku ssomero lya St Mary’s College Kisubi. Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi yeeyongerayo mu ssematendekero ya University of East Africa, mu Dar-es-Salaam okuva mu 1966 okutuusa mu 1969 nakuguka mu by'amateeka.

Emirimu gye n'obuweerezaabwe.

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafuna diguli mu mateeka okuva ku ssettendekero ya University of East Africa . Era alina dipuloma mu kuteekesa mu nkola amateeka okuva ku Law Development Center mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene.[6]

Okuva mu 1973 okutuuka 1978, yaweerezaako ng'omusomesa ku Uganda Law Development Centre. Okuva mu 1978 ne 1979, yakolako nga ssenkulu wa Law Development Centre. Ye munnamateeka eyakulemberamu akakiiko akaakola okubuuliriza ku kutyoboola eddembe ly'obuntu wakati wa 1986 ne 1993. Yali omu ku baabaga ssemateeka wa Uganda ow'omwaka 1995 eyabagibwa wakati wa 1994 ne1995.[7]

Oluvannyuma lw'okukuguka mu mateeka yeeyunga ku kooti ya Uganda ensukkulumu nga puliida mu mwaka gwa 1970. Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi yaliko omuwolereza wa gavumenti mu minisitule y'obwenkanya " Ministry of justice" wakati wa 1969 ne 1973. Yasomesaako mu Law Developement Center jeyafuukira pulinsipal lekikyala era oluvannyuma nafuuka omukulu wa depaatimenti. Yali avunaanyizibwa ku masomo agenjawulo mu LDC wakati wa 1974 ne 1979, yakulirako essomo lya postgraduate bar n'obuvunanyizibwa obwenjawulo. [7]

Okuva mu 1978 paka 1979, yakola nga Ssenkulu (Director) wa Law Development center era mmemba mu Law Council, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bukugu bwamateeka mu Uganda.Okuva mu 1979 paka kati abadde Puliida mu Ssekandi and Company Advocates.Yaliko chancellor wa Namirembe Diocese okuva mu 1982 paka mu 1985. Mu 1986 paka 1993 yeyakulembera ba bannamateeka mu kakiiko akabuuliriza kukutyoboola eddembe lyobuntu mu Uganda akaayitibwa "Commision of Inquiry into the violation of Human Rights in Uganda" omulimu gweyakola obulungi ennyo.[7]

Mu 1986 paka 1992, yali omumyuka wa Ssentebe wa Law Council Disciplinary Committee eyali evunaanyizibwa ku nsonga z'empisa mu bannamateeka.Wakati wa 1992 ne 1996, yali mmemba mu Law Developement Centre managemnet Committee. Mu 1994 paka mu 1995 yaliko omukiise mu Uganda constituent Assembly ng'akiikirira Bukoto ey'awakati, mu disitulikiti y'eMasaka, era nga yali omu ku abo abaaliwo nga babaga ssemateeka Uganda kwetambulira okutuusa kaakano.

Yafuuka omukiise mu paalamenti ya Uganda okuva mu 1996 paka 2001 ng'akiikirira Bukoto eyawakati. Yalondebwa ku bwa ssentebe bwakakiiko ka "Committe of Rules, Privileges and Discipline mu 1996,1997 ne 1998.Wakati wa 09/1998 ne 7/2001, owek. Edward Ssekandi yalondebwa ku bw'omumyuka w'omukubiriza wolukiiko lw'eggwanga olw'omukaaga, ne ku bw'omumyuka wa Ssentebe wa "Committe of the whole house". Yali mmemba wa "Parliamentary Appointments Committee".Mu 6/2001 okutuusa mu 5/2006, yalondebwa neera okukikirira abantu ba Bukoto ya wakati, Masaka mu lukiiko lw'eggwanga. [7]

Mu 7/2001 paka 5/2006, owek. Edward Ssekandi yalondebwa okuba omukubiriza w'olukiiko lw'eggwanga Uganda. Owek. Ssekandi, mu 2/2006 paka 5/2011, yalondebwa nate abantu b'eBukoto ya wakati abakiikirire mu paalamenti. Mu 5/2006 paka 5/2011, yaddamu naawereza nga omukubiriza wa paalamenti ey'omunaana.Mu 2008 paka 2010, yeyali ssentebe wa Africa Parliamentary Union (APU).[7]

Okuva mu 1985 paka kati , aweereza mu Rotary Club eya Rubaga, era nga okuva mu 1989 paka mu 1990 yaliko pulezidenti waayo.

Ebimukwatako ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mufumbo, wa kibiina kya National Resistance Movement. Agambibwa okuba nga muwagizi nnyo ow'ebyemizannyo.[8]

  • Paalamenti ya Uganda
  • Olukalala lw'abakubiriza ba Paalamenti ya Uganda.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. EMMYEZI
  2. EMMYEZI
  3. https://archive.is/20150208044004/http://www.independent.co.ug/component/wordpress/2011/05/former-speaker-sekandi-is-new-vp-and-mbabazi-prime-minister/?Itemid=422
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/voters-speak-on-why-they-kicked-out-24-ministers-vp-3262462
  5. https://www.newvision.co.ug/news/1422842/vp-ssekandi-mother-100
  6. https://web.archive.org/web/20150924064454/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?details=t&j=258&const=Bukoto+County+Central&dist_id=5&distname=Masaka
  7. 7.0 7.1 7.2 7.3 7.4 https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=0d363612-d643-4bf9-8563-e9150791d462%3B1.0
  8. https://web.archive.org/web/20150924064454/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?details=t&j=258&const=Bukoto+County+Central&dist_id=5&distname=Masaka








ApplySandwichStrip

pFad - (p)hone/(F)rame/(a)nonymizer/(d)eclutterfier!      Saves Data!


--- a PPN by Garber Painting Akron. With Image Size Reduction included!

Fetched URL: https://lg.wikipedia.org/wiki/Ow%27ekitiibwa_Edward_Kiwanuka_Ssekandi

Alternative Proxies:

Alternative Proxy

pFad Proxy

pFad v3 Proxy

pFad v4 Proxy